Matthew 19:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka obw'omu ggulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'agamba nti, “Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi; kubanga abali ng'abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka obw'omu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubanga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.