Matthew 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne wajjawo omu w'ali, n'agamba nti: “Muyigiriza, nnaakola kirungi ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Ye n'amugamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti: “Muyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola, okufuna obulamu obutaggwaawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omuntu n'ajja gy'ali n'agamba nti Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?