Matthew 19:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ombuuliza ki ku kirungi? Anti omulungi ali omu; naye obanga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuddamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa eby'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu, naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Lwaki ombuuza ku kirungi? Omulungi ali Omu. Naye oba nga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro bya Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Lwaki ompita omulungi? Omulungi ali Omu: naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.