Matthew 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuvubuka n'amugamba nti: “Ebyo byonna nabikwata; nkyabulwako ki ate?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulenzi n'agamba Yesu nti, “Ebyo byonna nnabikwata, ekimpeebuuseeko ki ate?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuvubuka n'agamba Yesu nti: “Ebyo byonna nabituukiriza. Kiki ekikyambulako okukola?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulenzi n'amugamba nti Ebyo byonna nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate?