Matthew 19:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Obanga oyagala okutuukirira, genda, tunda by'olina owe abaavu, olwo obugagga olibeera nabwo mu ggulu; ojje ongoberere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo byonna, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu, olyoke ojje, ongoberere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Oba ng'oyagala okuba atuukiridde, genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.