Matthew 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti: omugagga kirimubeerera kizibu okuyingira Obwakabaka obw'omu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.