Matthew 19:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti mmwe abangoberera, ensi bw'eriba ezziddwa obuggya, Omwana w'Omuntu bw'alituula ku nnamulondo ey'obukulu bwe, nammwe mulituula ku nnamulondo kkumi na bbiri nga mulamula ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri (12), nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti: Omwana w'Omuntu bw'alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa, nga byonna bizzibwa obuggya, nammwe abayita nange, mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, ne musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.