Matthew 19:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate buli muntu eyaleka amayumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw'okubeera erinnya lyange, alifuna emirundi kikumi ko n'okusikira obulamu obutaggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi (100), era alisikira n'obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli muntu eyaleka ennyumba oba baganda be, oba abaana, oba ebibanja ku lwange, alifuna ebisingawo obungi emirundi kikumi, n'aweebwa n'obulamu obutaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.