Matthew 19:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'agamba nti: “Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba nti, ‘Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: ‘N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n'abeera ne mukazi we, bombi ne baba omuntu omu?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?