Matthew 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Ate Musa yalagirira ki okuwandiika ebbaluwa ey'obugobe n'okumusiibula?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafalisaayo ne bamubuuza nti, “Kale, lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo ne bamubuuza nti: “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ekakasa bw'amugobye, olwo alyoke amweggyireko ddala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Kale, Musa ekyamulagiza ki okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?