Matthew 19:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Musa yabakkiriza okugoba bakazi bammwe olw'okubeera obukakanyavu bw'emitima gyammwe, sso ng'olubereberye si bwe kyali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaddamu nti, “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe, naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe. Naye olubereberye, tekyali bwe kityo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo.