Matthew 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno nze mbagamba nti buli agoba mukazi we, wabula mpozzi olw'obwenzi, amala awasa omulala, aba ayenze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula nga amulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze, n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mbagamba nti buli agoba mukazi we okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.