Matthew 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayingira mu nyumba, ne balabamu omwana wamu ne Mariya nnyina, ne bavunnama, ne bamusinza. Ne basumulula amakula gaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaani ne mirra.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Mariya nnyina. Ne bafukamira ne basinza omwana, ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaane n'ebyakawoowo ebiyitibwa mirra.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.