Matthew 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe baalabulibwa mu kirooto obutadda wa Erode, ne badda mu nsi yaaboobwe nga bayitira mu kkubo eddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda bwe yabalabulira mu kirooto obutaddayo ewa Herode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode ne baddayo ewaabwe mu kkubo eddala.