Matthew 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okugenda, malayika w'Omukama n'alabikira Yozefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba, kubanga Erode wuuyo agenda kunoonya omwana okumutta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, n'amugamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo, kubanga Herode ajja okunoonya omwana okumutta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bwe baamala okugenda malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba; kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.