Matthew 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abeera eyo okutuusa Erode lwe yafa, Omukama kye yagamba ng'ayita mu mulanzi kituukirire, nti: “Nayita mutabani wange okuva mu Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti: “Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abeera eyo, okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti, “Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abeera eyo okutuusa Herode lwe yafa. Kino kyali bwe kityo, Mukama kye yayogerera mu mulanzi kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Nayita omwana wange ave mu Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.