Matthew 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erode bwe yalaba ng'abasajja bakalimagezi bamuguumaazizza, n'akalala nnyo; n'atuma n'atta mu Beteleemu ne mu byalo ebiriraanyeewo abaana bonna ab'obulenzi abaakamala emyaka ebiri n'okukka wansi, ng'alabira mu biro byennyini bye yabuulirizaamu abasajja bakalimagezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamwefulidde, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaali bawezezza emyaka ebiri n'abatannagituusa, okusinziira ku biro bwe byali bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali.