Matthew 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eddoboozi lyawulirwa mu Rama; okulira n'emiranga eminene; Rakeli ng'akaabira abaana be; tayagala na kukubagizibwa, kubanga tewakyali n'omu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, okukuba emiranga n’okukungubaga okunene, nga Laakeeri akaabira abaana be, nga tewakyali asobola kumuwooyawooya, kubanga bonna baweddewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So tayagala kukubagizibwa, kubanga tebakyaliwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akaabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So teyayagala kukubagizibwa, kubanga tewakyali.