Matthew 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yawulira nga Arikelawo y'afuga Buyudaaya mu kifo kya kitaawe Erode, n'atya okugenda eyo; bwe yalabulibwa mu kirooto, n'adda mu ssaza ly'e Galilaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'agenda mu kitundu ky'e Ggaliraaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yawulira nti Arukyelawo ye kabaka wa Buyudaaya, ng'asikidde kitaawe Herode, n'atya okulaga eyo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, n'alaga mu kitundu ky'e Galilaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Naye Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'ayita ku luuyi lwe Ggaliraaya,