Matthew 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna n'abawandiisi b'abantu, n'ababuuliriza ku Kristu gy'alizaalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza Kristo gye yali agenda okuzaalirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abakugu abannyonnyola abantu amateeka, n'ababuuza nti: “Kristo wa kuzaalibwa wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akuŋŋanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa?