Matthew 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Naawe Beteleemu, ensi ya Yuda, ddala si ggwe asingayo obutene mu bafuzi b'omu Buyudaaya, kubanga mu ggwe mwe muliva omufuzi alifuga abantu bange Yisirayeli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda, toli mutono mu balangira ba Yuda, kubanga omufuzi aliva mu ggwe, alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe Besirekemu, mu nsi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda; Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Naawe Betilehemu mu nsi ya Yuda, si ggwe osembayo mu balangira ba Yuda, kubanga mu ggwe mulivaamu omukulembeze, alirabirira abantu bange Yisirayeli.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe Besirekemu, ensi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri.