Matthew 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Erode n'ayita abasajja bakalimagezi mu kyama, n'ababuuliriza amanye ebbanga emmunyeenye lye yalabikiramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okuva lw'eyalabika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Herode n'ayita mu kyama abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye, n'ababuuza n'obwegendereza ekiseera kyennyini emmunyeenye kye yalabikiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okulabika.