Matthew 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abasindika e Beteleemu nga bw'abagamba nti: “Mugende munoonyereze bulungi ku mwana oyo; bwe mubanga mumulabye, mumbuulire, nange nzije mmusinze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti, “Mugende, munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke ŋŋende mmusinze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abasindika e Betilehemu, n'abagamba nti: “Mugende mubuulirize nnyo ku mwana oyo, era nga mumulabye, muntegeeze, nange ŋŋende mmusinze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke njije mmusinze.