Matthew 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Amangu ago emmunyeenye gye baalaba e Buvanjuba n'ebakulemberamu okutuusa lwe yatuuka n'eyimirira waggulu omwana we yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda; laba ne baddamu okulaba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awaali omwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Awo ne baddamu okulaba emmunyeenye gye baalaba ebuvanjuba, n'ebakulembera okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awali omwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, n'ejja n'eyimirira waggulu omwana w'ali.