Matthew 20:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasooka okukola bwe baasembera, ne balowooza nga banaafuna ekisingako; naye era nabo ne bafuna dinaari emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abaasooka okupangisibwa bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okusingawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababereberye ku mulimu bwe bajja okusasulwa, ne balowooza nti banaafuna kinene okusinga ku kya bali kye bafunye. Naye nabo ne bafuna denaari emu buli omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaasooka bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okukirawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.