Matthew 20:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba nti: ‘Ab'oluvannyuma bano abakoledde essaawa emu yokka obenkanyizza naffe abattunse n'omulimu olunaku lwonna n'olubabu lw'omusana?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bagamba nti, ‘Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obenkanya naffe, abaateganye okuva enkya nga n'essana litwokya?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bagamba nti: ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obasasula kye kimu nga ffe abaakoze omulimu olunaku lwonna, nga n'essana litwokya?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu, n'obenkanya naffe, abaateganye enkya n'essana nga litwokya.