Matthew 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamuwaayo mu b'amawanga okuduulirwa, okuswanyuulibwa, n'okukomererwa ku musaalaba; ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera, kyokka alizuukizibwa ku lunaku olwokusatu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era bamuweeyo mu b'amawanga amalala okumusekerera, n'okumukubisa embooko eriko amalobo agasuna, n'okumukomerera ku musaalaba. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera: n'alyoka azuukizibwa ku lunaku olw'okusatu.