Matthew 20:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okuteesa n'abakozi okubawa dinaari emu ng'olunaku luwedde, n'abasindika mu mizabbibu gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okulagaana n'abalimi okubasasula eddinaali emu olunaku, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe yamala okukkiriziganya nabo okubasasula denaari emu olunaku, n'abasindika okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okulagaana n'abalimi eddinaali ey'olunaku olumu, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu.