Matthew 20:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amugamba nti: “Oyagala ki?” N'amugamba nti: “Lagira abaana bange bano bombi batuule omu ku mukono gwo ogwa ddyo n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono mu bwakabaka bwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Oyagala ki?” N'amuddamu nti, “Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” N'amuddamu nti: “Suubiza nti mu Bwakabaka bwo, batabani bange bano bombi, balituula nga bakuliraanye, omu ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Oyagala ki? N'amugamba nti Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.