Matthew 20:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu n'addamu nti: “Kye musaba temukimanyi. Muyinza okunywa ekikompe kye ŋŋenda okunywa?” Ne bamugamba nti: “Tuyinza”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamugamba nti, “Tuyinza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamuddamu nti: “Tusobola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako? Ne bamugamba nti Tuyinza.