Matthew 20:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Weewaawo, ekikompe kyange mulikinywa, naye okutuula ku mukono ogwa ddyo oba ku mukono gwange ogwa kkono okukibawa si mulimu gwange; wabula ky'abo be kyategekerwa Kitange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Ku kikompe kyange mulinywerako ddala; naye eky'okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula kiweebwa abo Kitange be yakuterekera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Ddala ekikopo kyange eky'okubonaabona mulikinywako. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa Kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Ku kikompe kyange mulinywerako ddala: naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula eri abo Kitange be yakuterekera.