Matthew 20:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'abayita w'ali, n'agamba nti: “Mumanyi abakulembera amawanga bagalaga obuyinza, n'abakulu baabwe babafuza maanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'abayita bonna gy'ali, n'agamba nti, “Mumanyi ng'abafuzi b'amawanga babafuga, era abakulu baabwe babatwala n'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali. N'abagamba nti “Mumanyi ng'abafuzi b'abantu ab'ensi baagala kuweerezebwa. Era ababa n'obuyinza, bafugisa bukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'abayita gy'ali, n'agamba nti Mumanyi ng'abaami b'amawanga babafuga, n'abakulu baabwe babatwala n'amaanyi.