Matthew 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso mu mmwe si bwe kiriba; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe abeere muweereza wammwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tekiibenga bwe kityo mu mmwe; naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu mmwe, si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tekiibenga bwe kityo mu mmwe: naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: