Matthew 20:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, bamuzibe babiri baali batudde ku kkubo, ne bawulira nga Yezu ayita, ne bakoowoola nga bagamba nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamuzibe babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, ne bawulira nti Yesu ayitawo, ne batandika okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu; nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi.