Matthew 20:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina ne kibakomako basirike; naye bo ne baleekaana n'okusingawo nti: “Mukama, Omwana wa Dawudi, tusaasire!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina ne kibaboggolera, nga kibagamba okusirika; naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bababoggolera basirike. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina ne kibaboggolera, okusirika: naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi.