Matthew 20:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'akwatibwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe; amangu ago ne baddamu okulaba, ne bamugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe, amangwago ne balaba, ne bamugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe. Amangwago ne basobola okulaba, ne bagenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'akwatibwa ekisa, n'akoma ku maaso gaabwe: amangu ago ne balaba, ne bamugoberera.