Matthew 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye obudde bwe bwawungeera, nnannyini mizabbibu nagamba nnampala nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe ng'osookera ku bazze oluvannyuma okutuusa ku baasoose.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obudde bwe bwawungeera, nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba omusajja we alabirira abakozi nti, ‘Bayite abalimi, obawe empeera, ng'osookera ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obudde bwe bwawungeera, nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba musajja we alabirira abakozi, nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe, ng'otandikira ku baasembyeyo okujja okukola, osembyeyo abaasoose ku mulimu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obudde bwe bwawungeera, omwami w'olusuku olw'emizabbibu n'agamba omukoza we nti Bayite abalimi, obawe empeera, osookere ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.