Matthew 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abajja nga ku ssaawa ey'ekkumi n'emu bwe baatuuka, ne bafuna dinaari emu buli omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abaapangisibwa ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abo abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne basasulwa denaari emu buli omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ab'omu ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.