Matthew 21:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina nga bigamba nti: “ Ono ye Yezu omulanzi ow'e Nazareti ekya Galilaaya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibiina ne bigamba nti, “Ono ye nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Ono ye mulanzi, Yesu ow'e Nazaareeti eky'e Galilaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibiina ne bigamba nti Ono nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.