Matthew 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ayingira mu Kiggwa, n'agobamu abatunda n'abagulira mu Kiggwa, n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi n'entebe z'abatunda enjiibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'ayingira mu Yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu Yeekaalu, n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda enjiibwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abo bonna abaali batundiramu, n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batundiramu enjiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'ayingira mu yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu yeekaalu. n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda amayiba;