Matthew 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu;’ sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu;’ naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.