Matthew 21:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba ebyewuunyisa bye yakola n'abaana nga baleekaana mu Kiggwa nga bagamba nti: “Hosanna eri Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu Yeekaalu nga bagamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi;” ne banyiiga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baalaba ebyamagero bye yakola, era ne balaba abaana nga baleekaana mu Ssinzizo, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi atenderezebwe,” ne banyiiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu yeekaalu nga bagamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi; ne banyiiga