Matthew 21:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamugamba nti: “Owulira abo kye bagamba?” Yezu n'abagamba nti: “Yee; mmwe temusomangako nti: “ ‘Mu kamwa k'abawere n'abayonka mwe waggya ettendo ettuufu’?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, “ ‘Abaana abato n’abawere abayonka balimutendereza!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamugamba nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mpulira; temusomangako nti, ‘Mu kamwa k'abaana abato n'abawere otuukirizza ettendo?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Owulira abo bye bagamba?” Yesu n'abaddamu nti: “Weewaawo. Temusomangako ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Wagunjula abaana abawere n'abayonka okuwa ettendo ettuufu?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamugamba nti Owulira bano bwe bagamba? Yesu n'abagamba nti Mpulira: temusomangako nti Mu kamwa k'abaana abato n'abawere otuukirizza ettendo?