Matthew 21:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'alaba omukunyu ogumu ku bbali w'oluguudo, n'agenda gye guli, naye n'atasangako kantu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Ku ggwe tekuvangako kibala emirembe gyonna!” Amangu ago omukunyu ne gukala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala emirembe n'emirembe.” Amangwago omutiini ne guwotoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alengera omuti gumu omutiini ku mabbali g'ekkubo. N'agutuukako, n'atagusangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Toddangayo okubala ebibala emirembe gyonna!” Amangwago omutiini ne gukala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti Tobalanga bibala emirembe n'emirembe. Amangu ago omutiini ne guwotoka.