Matthew 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso, mangu awo mujja kusanga endogoyi esibiddwa ng'erina omwana gwayo; muziyimbule, muzindeetere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi esibiddwa, nga eri n'omwana gwayo; muzisumulule, muzindeetere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangwago, mujja kulaba endogoyi esibiddwa nga eri n'omwana gwayo. Muzisumulule, muzindeetere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi ng'esibiddwa, n'omwana gwayo nayo; muzisumulule, muzindeetere.