Matthew 21:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na byonna bye munaasabanga nga mwegayirira, mulibifuna, bwe munaabanga n'okukkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne byonna byonna bye munaayagalanga, bwe munaasabanga nga mukkirizza, munaabiweebwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa muba n'okukkiriza, byonna bye munaasabanga Katonda nga mumusinza, munaabifunanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga.