Matthew 21:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yajja mu Kiggwa, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja w'ali bwe yali ayigiriza, ne bagamba nti: “Ebyo obikozesa buyinza ki? Ani yakuwa obuyinza obwo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'ayingira mu Yeekaalu, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja gy'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani eyakuwa obuyinza buno?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingira mu yeekaalu, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja gy'ali ng'ayigiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino? ani eyakuwa obuyinza buno?