Matthew 21:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ayanukula, n'abagamba nti: “Nange nzija kubabuuza ekigambo kimu; bwe munanziramu, nange ne ndyoka mbabuulira obuyinza obunkoza ebyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe munaakinzivuunula, era nange n'ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe mnnaakinzivuunula, era nange n'ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino.