Matthew 21:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale, batismu ya Yowanna yava wa? Yava mu ggulu, nandiki mu bantu?” Ne beebuuzaganya nga bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Mu ggulu nantiki mu bantu?” Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Mu ggulu,’ anaatugamba nti, ‘Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? mu ggulu nantiki mu bantu? Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Bwe tunaagamba nti Mu ggulu: anaatugamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?