Matthew 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ate bwe tugamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti: ‘Awo nno lwaki temwamukkiriza?’ Bwe tugamba nti: ‘Yava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna Yowanna bamuyita mulanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe tunaagamba nti, ‘Mu bantu;’ tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe tunaagamba nti Mu bantu; tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi.